Psalms 74:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jjukira ekibiina kyo kye weefunira okuva ddi na ddi, abantu be wanunula ng'obusika bwo, olusozi Siyoni kw'osula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ojjukire abantu bo be wagula edda; ekika kye wanunula okuba ababo. Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jjukira abantu be weefunira okuva edda, Be wanunula babe eggwanga eriryo ddala. Jjukira Olusozi Sayuuni kwe wabeeranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jjukira abantu be weefunira okuva edda, be wanunula babe eggwanga eriryo ddala. Jjukira Olusozi Siyooni kwe wabeeranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ojjukire ekibiina kyo kye wagula edda, Kye wanunula okuba ekika eky'obusika bwo; N'olusozi Sayuuni, lwe watuulangamu.