Psalms 74:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Leka kwerabira maloboozi g'abalabe bo; oluyoogaano lw'abakusitukiramu olugenda lukaalaama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo, n’okuleekaana okwa buli kiseera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Teweerabira ddoboozi lya balabe bo; Oluyoogaano lw'abo abakugolokokerako lulinnya bulijjo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teweerabira okuboggola kw'abalabe bo, n'okuleekaana kw'abakuwalanya obutasalako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Teweerabira ddoboozi lya balabe bo: Oluyoogaano lw'abo abakugolokokerako lulinnya bulijjo.