Psalms 74:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakukyawa baakaga mu makkati g'ekibiina kyo; bendera zaabwe baazisimbayo ng'obubonero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga; ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalabe bo balekanira, mu kifo kyo ekitukuvu, Mu kifo kyo ekitukuvu. Basimbye ebendera zaabwe okuba obubonero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalabe bo baawogganira mu kifo mw'otukuŋŋaanyiza, ne basimbamu bbendera zaabwe, okulaga bwe bawangudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abalabe bo bawulugumye wakati mu kibiina kyo; Basimbye ebendera zaabwe okuba obubonero.