Psalms 74:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baagambanga mu mutima gwabwe nti: “Tubazikiririze ddala bonna.” Baayokya wonna mu nsi buli kifo awaasinzibwanga Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!” Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Boogedde mu mitima gyabwe nti, “Tubazikiririze ddala bonna.” Bookerezza ddala amakuŋŋaaniro gonna aga Katonda mu ggwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baateesa okutuzikiririza ddala, ne bookya ebifo ebitukuvu byonna ebiri mu ggwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Boogedde mu mitima gyabwe nti Tubazikiririze ddala bonna bonna: Bookerezza ddala amakuŋŋaaniro gonna aga Katonda mu nsi.