Psalms 75:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ogamba nti: “Bwe ndissaawo akabanga, ndiramula mu bwenkanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira, naye nze nywezezza empagi zaayo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi n'abantu bonna abagituulamu biweddewo, Nze nsimbye empagi zaayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi bw'eyuuguuma n'ebigirimu byonna, nze ŋŋumya empagi zaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi n'abantu bonna abagituulamu biweddewo: Nze nsimbye empagi zaayo. (Seera)