Psalms 75:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi ne bw'eneeyuuguuma n'abagirimu bonna, nze nnyweza empagi zaayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nalabula ab’amalala bagaleke, n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba ab'egulumiza nti, “Temwegulumiza,” N'ababi nti, “Temuyimusanga jjembe”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ŋŋamba abeewaana nti: ‘Mulekenga okwewaana.’ N'ababi nti: ‘Mulemenga okwekulumbaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nagamba ab'ekyejo nti Temugiranga kyejo: N'ababi nti Temuyimusanga jjembe: