Psalms 75:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda yekka ye mulamuzi; ono amutoowaza, oli n'amugulumiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu; akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mu mukono gwa Mukama ekikompe mwe kiri, n'omwenge gwamu guliko ejjovu; Kijjudde ogutabuddwamu, n'akifuka; Mazima ebbonda lyagwo ababi bonna ab'ensi balirikutamira, balirinywa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama akutte mu ngalo ze ekikopo ky'omwenge omuka ogw'obusungu bwe. Alikifuka, ababi bonna ne bakinywa, ne bakimalamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu mukono gwa Mukama ekikompe mwekiri, n'omwenge gwamu guliko ejjovu; Kijjudde ogutabuddwamu, n'akifuka; Mazima ebbonda lyagwo ababi bonna ab'ensi balirikutamira, balirinywa.