Psalms 76:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda bwe yasituka okulamula, alokole abanaku bonna ab'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa, n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima obusungu bw'abantu bulikutendereza; Obusungu obulisigalawo olibwesiba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala obusungu bw'abantu bwongera kukuweesa kitiibwa. Abaliwona entalo balikutendereza nga bajaguza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima obusungu bw'abantu bulikutendereza: Obusungu obulisigalawo olibwesiba.