Psalms 76:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo gye yamenyera obusaale obumasamasa; engabo, ekitala n'olutalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Owa ekitangaala, oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oli wa muwendo, wa kitiibwa nnyo, osinga ensozi ezolubeereera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oli waakitiibwa, ayi Katonda, ng'ova mu nsozi gye wawangulira abalabe bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oli wa kitiibwa, osinga, okuva ku nsozi ez'omunyago.