Psalms 76:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Otemagana, weewuunyisa ng'oli ku nsozi ez'omuyiggo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa, beebaka ne batasobola kugolokoka, ne watabaawo n’omu asobola okuyimusa omukono gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'emitima emizira banyagiddwa, beebase mu tulo twabwe; bantu bonna abalwanyi, tebasobola kukozesa emikono gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalwanyi baabwe abazira, byonna bye baalina binyagiddwa, kati beebase obutakyassa. Amaanyi gaabwe n'obuzira tebyabagasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'emitima emizira banyagiddwa, beebase mu tulo twabwe; So mu bantu ab'amaanyi temuli abalabye emikono gyabwe.