Psalms 76:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abazira mu mutima baayaayibwa, ne bagalamira okwebaka; bonna enkwantangabo tebaasobola kweyamba mikono gyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo, abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe wabogolamu, ggwe Katonda wa Yakobo, abeebagala embalaasi n'embalaasi ne birambaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe wakangisaamu oti, ayi Katonda wa Yakobo, embalaasi n'abazeebagala baagwa eri ne balambaala!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe onenyezza, ggwe Katonda wa Yakobo, Eggaali era n'embalaasi n'ebyebasibwa otulo otw'okufa.