Psalms 76:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli wa ntiisa ggwe. Ani aligumira w'oli ng'osunguwadde?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu, ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wasinzira mu ggulu n'osala omusango; Ensi n'etya, n'esirika,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wamanyisa ensala y'omusango evudde mu ggulu. Ensi n'etya n'esirika,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wawuliza omusango nga guvudde mu ggulu; Ensi n'etya, n'esirika;