Psalms 77:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndyebuulirira ku mirimu gyo gyonna, ne neefumiitiriza ku bikolwa byo eby'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu. Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekkubo lyo, Ayi Katonda, ttukuvu, Katonda ki oyo, asinga Katonda waffe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda, by'okola bitukuvu, oli mukulu, ani alikwenkana?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekkubo lyo, ai Katonda, liri mu watukuvu: Katonda omukulu, ali nga Katonda, ye ani?