Psalms 77:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wanunula abantu bo n'omukono gwo ogw'amaanyi, bazzukulu ba Yakobo ne Yozefu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda; amazzi bwe gaakulaba ne gatya, n’obuziba ne bukankanira ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda; Amazzi gaakulaba, ne gatya, Era n'obuziba ne bukankana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda, amazzi gaakutya bwe gaakulaba, wakankanya obuziba bw'ennyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amazzi gaakulaba, ai Katonda; Amazzi gaakulaba, ne gatya: Era n'obuziba ne bukankana.