Psalms 78:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe yakuba olwazi, amazzi ne gafumbukuka, amazzi ne gakulukuta, naye abantu be anaasobola okubalabira omugaati, yadde okubafunira ennyama?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo yakuba olwazi, amazzi ne gakulukuta ng’emigga; naye anaatuwa emmere? Anaawa abantu be ennyama?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo yakuba olwazi, amazzi ne gatiiriika, Emigga ne gikulukuta; Ayinza okutuwa emmere? Anaawa ennyama abantu be?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weewaawo yakuba olwazi ne luvaamu amazzi. Gaayiika ne gafuuka emigga egy'amaanyi. Era ayinza abantu be okubawa ennyama n'emmere kaakati?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, yakuba ejjinja amazzi ne gatiiriika, Emigga ne gikulukuta; Era ayinza okuwa n'omugaati? Alirabira ennyama abantu be?