Psalms 78:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama bwe yakiwulira, n'asunguwala, oluyiira ne lukoleerera Yakobo, n'obusungu bwe ne bweserera ku Yisirayeli,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama bwe yawulira ebyo n’asunguwala nnyo; omuliro gwe ne gwaka ku Yakobo, n’obusungu bwe ne bubuubuukira ku Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyeyava awulira, n'asunguwala, Omuliro ne gwaka ku Yakobo, Era n'obusungu ne bubuubuuka ku Isiraeri,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bwe yawulira ebyo, yasunguwala, n'akuma ku ba Yakobo omuliro, ku Bayisirayeli, obusungu bwe ne bunyooka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyeyava awulira, n'asunguwala: Omuliro ne gwaka ku Yakobo, Era n'obusungu ne bunyooka ku Isiraeri: