Psalms 78:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yata empewo y'ebugwanjuba okuva mu ggulu, n'aleeta n'amaanyi g'empewo ey'emaserengeta,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akunsa empewo ey’Ebuvanjuba okuva mu ggulu, era n’aweereza empewo okuva obukiika obwaddyo n’amaanyi ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akunsa empewo eziva ebuvanjuba mu ggulu; Era n'aluŋŋamya n'obuyinza bwe empewo eziva obukiikaddyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Embuyaga eva ebuvanjuba yagikunsa, era amaanyi ge ne galeeta eyo eva mu bukiikaddyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akunsa empewo eziva ebuvanjuba mu ggulu: Era n'aluŋŋamya n'obuyinza bwe empewo eziva obukiika obwa ddyo.