Psalms 78:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku bo ennyama n'agitonnyesa ng'enfuufu: ennyonyi z'ebiwaawaatiro ennyingi ng'omusenyu gw'oku nnyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yatonnyesa ennyama okuva mu ggulu ennyingi ennyo ng’enfuufu; n’abaweereza n’obunyonyi enkumu ennyo ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'abatonnyeseza ennyama ennyingi ng'enfuufu, N'ennyonyi ezibuuka ng'omusenyu ogw'ennyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abaweereza ennyama eyaze ng'enfuufu: ze nnyonyi ennyingi ng'omusenyu gw'ennyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'abatonnyeseza ennyama ng'enfuufu, N'ennyonyi ezibuuka ng'omusenyu ogw'ennyanja: