Psalms 78:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka yali musaasizi, n'abasaasira ebyonoono byabwe n'atabazikiriza. Mirundi mingi n'afuga obusungu bwe, n'atakoleeza buswandi bwe bwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ye n’abakwatirwanga ekisa n’abasonyiwanga, n’atabazikiriza; emirundi n’emirundi ng’akoma ku busungu bwe, n’atabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ye, kubanga yajjula okusaasira, n'asonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'atabazikiriza. Weewaawo, emirundi emingi yakomanga ku busungu bwe, N'atabamalirako kiruyi kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula Katonda ye, yabakwatirwanga kisa, n'abasonyiwa ebisobyo. Era teyabasaanyaawo. Emirundi mingi era ng'obusungu bwe abufuga, ne butabaggweerako bwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ye, kubanga yajjula okusaasira, n'asonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'atazikiriza: Weewaawo, emirundi emingi yabayisaako obusungu bwe, N'atakubiriza busungu bwe bwonna.