Psalms 78:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yabasindikira obusungu bwe obwesera, obuswandi, obunyiivu n'ennaku, kye kibinja kya bamalayika abazikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako, n’ekiruyi kye n’obukambwe ne bibamalamu ensa. N’alyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yabakasukako obusungu bwe obukambwe, N'okunyiiga, n'okunyiikaala, n'okunakuwala, N'ekibiina kya bamalayika okubazikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yabaleetera okunakuwala, ng'abayiwako obusungu bwe n'ekiruyi, bye yabatumira abazikirize.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yabakasukako obusungu bwe obukambwe, N'okunyiiga, n'okunyiikaala, n'okunakuwala, Ekibiina kya bamalayika abaleeta obubi.