Psalms 78:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Yakobo yassaamu ekiragiro, mu Yisirayeli yatongozaamu etteeka: bye yalagira bajjajjaffe, babimanyise abaana baabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yawa Yakobo ebiragiro, n’ateeka amateeka mu Isirayiri; n’alagira bajjajjaffe babiyigirizenga abaana baabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga yanyweza obujulirwa mu Yakobo, Era yalagira etteeka mu Isiraeri, Lye yakuutira bajjajjaffe, Babiyigirizenga abaana baabwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yawa ebiragiro bazzukulu ba Yakobo, mu Yisirayeli amateeka yagassaamu. Kwe kukuutira bajjajjaffe bagayigirize abazzukulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga yanyweza obujulirwa mu Yakobo, Era yalagira etteeka mu Isiraeri, Lye yakuutira bajjajjaffe, Babitegeezenga abaana baabwe: