Psalms 78:53 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abatwala mu ddembe, tebaalimu kutya; naye abalabe baabwe ennyanja n'ebasaanyaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya, ennyanja n’esaanyaawo abalabe baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abakulembera mu mirembe bw'ati n'okutya ne batatya; Naye ennyanja n'esuulira ddala abalabe baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abakulembera mirembe ne batatya. Naye abalabe baabwe ne bamiribwa ennyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abakulembera mu mirembe bw'ati n'okutya ne batatya: Naye ennyanja n'esuulira ddala abalabe baabwe.