Psalms 78:57 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beekyusa ne basuula obwesigwa okufaanana nga bajjajjabwe, nga tebakyesigika ng'omutego gw'akasaale omukyamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali, ne baggwaamu obwesigwa ng’omutego gw’obusaale omukyamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne bakyuka ne badda emabega ne bakuusakuusa nga bajjajjaabwe; Ne bakyama ng'omutego ogw'obulimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula ne badda emabega, ne bakuusakuusa nga bajjajjaabwe, ne beekyusiza mu kiti ng'embazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne bakyuka ennyuma ne bakuusakuusa nga bajjajjaabwe: Ne bakyama ng'omutego ogw'obulimba.