Psalms 78:58 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bamunyiiza n'ebifo byabwe ebigulumivu; baasiikuula obuggya bwe olw'ebifaananyi bya balubaale ebyole.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu, ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga baamusunguwazanga n'ebifo byabwe eby'oku nsozi, Ne bamukwasanga obuggya n'ebifaananyi byabwe ebyole.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baamusunguwaza olw'amasabo gaabwe ag'oku nsozi, ne bamunyiiza nnyo olw'ebifaananyi ebyole.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga baamusunguwazanga n'ebifo byabwe eby'oku nsozi Ne bamukwasanga obuggya n'ebifaananyi byabwe ebyole.