Psalms 78:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo obwesige bwabwe babusse mu Katonda, baleme kwerabira Katonda bye yakola, ebiragiro bye babituukirizenga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
balyoke beesigenga Katonda, era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola; naye bagonderenga ebiragiro bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balyoke basuubirenga Katonda, So balemenga okwerabira emirimu gya Katonda, Naye bakwatenga amateeka ge,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bwe batyo na bano balyoke beesigenga Katonda, baleme kwerabira bikolwa bya Mukama, naye bakwatenga amateeka ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balyoke basuubirenga Katonda, So balemenga okwerabira emirimu gya Katonda, Naye bakwatenga amateeka ge: