Psalms 78:71 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yamuggya ku kulunda eziyonsa, n'amuleeta, ajje alunde Yakobo abantu be ne Yisirayeli obusika bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ave mu kuliisa endiga, naye alundenga Yakobo, be bantu be, era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kugoberera endiga eziyonsa mwe yamuggya, Okulundanga Yakobo, be bantu be, ne Isiraeri bwe busika bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ng'alabirira endiga eziyonsa kati alabirire aba Yakobo, Abayisirayeli abantu ba Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu kugoberera endiga eziyonsa mwe yamuggya, Okulundanga Yakobo be bantu be, ne Isiraeri bwe busika bwe.