Psalms 79:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki amawanga gandigambye nti: “Katonda waabwe aluwa?” Okuwoolera eggwanga olw'omusaayi gw'abaweereza bo ogwayiyibwa kumanyike mu mawanga mu maaso gaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki abamawanga babuuza nti, “Katonda waabwe ali ludda wa?” Kkiriza okuwalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bo ogwayiyibwa, kumanyibwe mu mawanga gonna nga naffe tulaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'amawanga ekiriba kiboogeza kiki nti Katonda waabwe ali ludda wa? Eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bo oguyiika Limanyibwe mu b'amawanga mu maaso gaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwaki ab'amawanga amalala banditubuuzizza nti: “Katonda wammwe ali ludda wa?” Tulage bw'obonereza amawanga olw'omusaayi gw'abaweereza bo ogwayiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'amawanga ekiriba kiboogeza kiki nti Katonda waabwe ali ludda wa? Eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bo oguyiika