Psalms 79:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo abantu bo, endiga z'omu ddundiro lyo, tulikugulumiza emirembe gyonna; mu mazadde n'amazadde tulirangirira ettendo lyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno, ffe abantu bo era endiga ez’omu ddundiro lyo, tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna; buli mulembe gulyoke gukutenderezenga emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naffe abantu bo era endiga ez'ettale lyo tunaakwebazanga ennaku zonna. Tunaayolesanga ettendo lyo okutuusa emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo ffe ababo, endiga z'omu kisibo kyo, tunaakwebazanga bulijjo, tukutenderezenga ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naffe abantu bo era endiga ez'ettale lyo Tunaakwebazanga ennaku zonna: Tunaayolesanga ettendo lyo okutuusa emirembe gyonna.