Psalms 79:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusaayi baaguyiwa ng'amazzi okwetooloola Yeruzaalemu; tewaali aziika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi okwetooloola Yerusaalemi, so nga abafudde tewali muntu abaziika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusaayi gwabwe bagufuse ng'amazzi okwetooloola Yerusaalemi; Ne wataba muntu wa kubaziika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baayiwa omusaayi gw'abantu bo, ng'abayiwa amazzi, ne wataba wa kubaziika!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusaayi gwabwe bagufuse ng'amazzi okwetooloola Yerusaalemi: Ne wataba muntu wa kubaziika.