Psalms 79:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Totusibaako misango gya bajjajjaffe; okusaasira kwo kwanguwe okututuuka, kubanga tunakuwaziddwa nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Totubalira kibi kya bajjajjaffe; tukusaba oyanguwe okutusaasira kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tojjukira gyetuli obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe; Okusaasira kwo okulungi kwanguwe okutukulemberanga, Kubanga tujeezebwa nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Totubonereza lwa bibi bya bajjajjaffe. Yanguwa okutukwatirwa ekisa, kubanga tufeebezebwa nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tojjukira gye tuli obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe: Okusaasira kwo okulungi kwanguwe okutukulemberanga: Kubanga tujeezebwa nnyo.