Psalms 8:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eri omuyimbisa. Lugenda nga Gittiti. Zabbuli ya Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna! Ekitiibwa kyo kitenderezebwa okutuuka waggulu mu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna! Ggwe eyateeka ekitiibwa kyo ku ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga kkulu nnyo mu nsi yonna! Ettendo lyo lituuka ne ku ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna! Ggwe eyateeka ekitiibwa kyo ku ggulu.