Psalms 8:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga lya kitiibwa mu nsi yonna! Wassa ekitiibwa kyo waggulu okusukka n'eggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana abato n’abawere wabawa amaanyi okukutendereza; ne basirisa omulabe wo n’oyo ayagala okwesasuza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Liyimbibwa abaana abato n'abayonka. Oziyiza abalabe, N'abo abagala okukola obubi bannaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Liyimbibwa abaana abato n'abayonka. Wazimba ekigo okwetaasa abalabe bo n'okwegobako buli akulwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu kamwa k'abawere n'abayonka wanyweza amaanyi, Olw'abalabe bo, Olyoke osirise omulabe n'oyo awalana eggwanga.