Psalms 8:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omuntu ye ani gw'ojjukira, oba omwana w'omuntu ye ani gw'ossaako omwoyo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda; n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga wamukola, n'abulako akatono okuba nga ggwe Katonda. Era wamutikkira engule ey'ekitiibwa n'ettendo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wamukola, n'abulako katono okwenkana ggwe Katonda. Wamutikkira engule eyeekitiibwa n'ettendo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga wamukola okubulako akatono okuba nga Katonda, Era omussaako engule ey'ekitiibwa n'ettendo.