Psalms 80:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gwayagaagaza amatabi gaagwo okutuuka ku Nnyanja, n'emirandira gyagwo okutuuka ku Mugga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale wamenyera ki ebisenge byagwo, abayitawo bonna ne beenogera ebibala byagwo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiki ekyakumenyesa enkomera zaagwo, Bonna abayita mu kkubo ne bagunogako?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wamenyera ki enkomera ezigwetoolodde? Kaakati bonna abayitawo beenogera ebibala byagwo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki ekyakumenyesa enkomera zaagwo, Bonna abayita mu kkubo ne bagunogako?