Psalms 80:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukono gwo gubeere ku musajja ali ku ddyo wo; ku mwana w'omuntu gwe weekuliza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega. Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naffe tuleme okudda emabega okukuvaako. Otuzuukize ggwe, naffe tunaakaabiranga erinnya lyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tetukyaddamu kukuvaako, tukuume nga tuli balamu, olwo tunaakutenderezanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naffe tetulidda nnyuma okukuleka: Otuzuukize ggwe, naffe tunaakaabiranga erinnya lyo.