Psalms 80:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Musumba wa Yisirayeli, tegereza; ggwe afulumya Yozefu ng'eggana, awaŋŋamye wakati mu bakerubi, tangalijja
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaanyi go galabike mu Efulayimu, ne mu Benyamini ne mu Manase, ojje otulokole.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaanyi go galabike mu Efulayimu ne Benyamini ne Manase, Ojje otulokole.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weeyoleke Efurayimu ne Benyamiini ne Manasse. Situka n'amaanyi go ojje otulokole.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu maaso ga Efulayimu ne Benyamini ne Manase, kubiriza amaanyi go, Ojje otulokole.