Psalms 80:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obaliisizza omugaati gw'amaziga; obanywesezza ensuwa n'ensuwa z'amaziga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Otufudde eky’okusekererwa mu baliraanwa baffe, n’abalabe baffe ne batuduulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Otufudde eky'okusekererwa eri baliraanwa baffe; N'abalabe baffe baseka bokka na bokka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Otuleka ne tuyombagana ne baliraanwa baffe, abalabe baffe ne beesekera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Otufuula oluyombo eri baliraanwa baffe: N'abalabe baffe baseka bokka na bokka.