Psalms 80:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Katonda w'Amagye, tuzzeewo, twakize amaaso go tulokolebwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri; n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waggya omuzabbibu mu Misiri, Wagobamu amawanga, n'ogusimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe waggya omuzabbibu e Misiri, ab'amawanga amalala n'obagoba mu nsi yaabwe, n'ogusimbamu, ne gubuna ensi eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waggya omuzabbibu mu Misiri: Wagobamu amawanga, n'ogusimba.