Psalms 81:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ggwe tebeerangayo lubaale w'ebweru, era tovunnamiranga lubaale mugwira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y’e Misiri. Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze Mukama Katonda wo, Eyakuggya mu nsi y'e Misiri; Yasama nnyo akamwa ko, nange naakajjuza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri. Mwasamye akamwa kammwe, nja kukajjuza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze Mukama Katonda wo, Eyakuggya mu nsi y'e Misiri: Yasama nnyo akamwa ko, nange naakajjuza.