Psalms 82:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutaase anyigiriziddwa n'omunafu; musalire mu bwenkanya omwavu n'omunaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya; abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musalirenga emisango omwavu n'oyo atalina kitaawe; Mugattenga oyo ali mu nnaku n'atalina bintu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musalirenga abaavu ne bamulekwa baweebwenga ebyabwe ebibasaanidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musalirenga emisango omwavu n'oyo atalina kitaawe: Mugattenga oyo ali mu nnaku n'atalina bintu.