Psalms 83:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Luyimba. Zabbuli ya Asafu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego. Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Katonda, tosirika nate. Toleka kwogera, n'otobaako ky'okola, Ayi Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda tosirika busirisi, wadde okubeera awo, ayi Katonda, nga toliiko ky'ofaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Katonda, tosirika nate: Toleka kwogera, so tobeererawo, ai Katonda.