Psalms 84:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Katonda tunuulira engabo yaffe; kyukiza amaaso eri omusiige wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okumala olunaku olumu mu mpya zo, kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange, okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga olunaku lumu mu mpya zo lusinga olukumi. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange Okusinga okutuula mu weema ez'obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku olumu mu mpya zo, lusinga olukumi ze mmala awalala. Nandisiimye okuyimirira ku mulyango ogw'ennyumba ya Katonda, okusinga okubeeranga mu mayumba g'aboonoonyi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga olunaku lumu mu mpya zo lusinga olukumi. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange Okusinga okutuula mu weema ez'obubi.