Psalms 84:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima olunaku olumu luti mu mpya zo, lusinga endala olukumi awalala; Waakiri okubeera omuggazi ku nnyumba ya Katonda, okusinga okusula mu weema z'ababi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe; atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa; tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama Katonda ye njuba, ye ngabo, Mukama anaagabanga ekisa n'ekitiibwa; Tammenga kintu kirungi kyonna abo abeegendereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama Katonda ye Kabaka oweekitiibwa atutaasa. Abeegendereza taliiko kirungi ky'abamma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama Katonda ye njuba, ye ngabo: Mukama anaagabanga ekisa n'ekitiibwa: Tammenga kintu kirungi kyonna abo abeegendereza.