Psalms 84:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo gwange guyaayaana ne guzirika olw'empya z'Omukama; omutima gwange n'omubiri gwange bijaguliza mu Katonda omulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo, ne nkazaluggya yeekoledde ekisu, n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo awo okumpi n’Ebyoto byo, Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, enkazaluggya yeerabidde ennyumba, N'akataayi ekisu mwe kanaabiikiranga obwana bwako, Bye byoto byo, Ayi Mukama ow'eggye, Kabaka wange, era Katonda wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weewaawo enkazaluggya zeezimbira ebisu, obutaayi nabwo bwekolera we bubiikira amagi gaabwo, okumpi n'alutaari zo, ayi Mukama Nnannyinimagye, Kabaka wange era Katonda wange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, enkazaluggya yeerabidde ennyumba, N'akataayi ekisu mwe kanaabiikiranga obwana bwako, Bye byoto byo, ai Mukama ow'eggye, Kabaka wange, era Katonda wange.