Psalms 84:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama Katonda w'Amagye, wulira essaala yange, tega okutu ayi Katonda wa Yakobo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Katonda, Engabo yaffe, tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tunula, Ayi Katonda engabo yaffe, Olabe amaaso g'oyo gwe wafukako amafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, atutaasa, tunuulira omusiige wo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tunula, ai Katonda engabo yaffe, Olabe amaaso g'oyo gwe wafukako amafuta.