Psalms 85:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwesigwa busituka mu nsi, n'obutuukirivu buyima mu ggulu ne butunula wansi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi, n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, Mukama anaagabanga ebirungi; N'ensi yaffe eneereetanga ekyengera kyayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala Mukama anaatuwa ebirungi, era ensi yaffe eneeba mu kyengera kingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, Mukama anaagabanga ebirungi; N'ensi yaffe eneereetanga ekyengera kyayo.