Psalms 85:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, tugirire ekisa, era otulokole.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba; asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe; naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ka mpulire Katonda Mukama by'anaayogera; Kubanga anaabuulira abantu be emirembe, n'abatukuvu be, Naye baleme okukyama nate mu busirusiru.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ka mpulire Katonda Mukama ky'agamba, kubanga asuubiza mirembe ababe b'ayagala, bwe bataddayo mu busirusiru bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ka mpulire Katonda Mukama by'anaayogera: Kubanga anaabuulira abantu be emirembe, n'abatukuvu be: Naye baleme okukyama nate mu busirusiru.