Psalms 85:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kuwuliriza Omukama Katonda ky'agamba; asuubiza ddembe abantu be n'abatuukirivu be, n'eri abo abadda gy'ali mu mazima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya, ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima obulokozi bwe buba kumpi abo abamutya; Ekitiibwa kiryoke kituulenga mu nsi yaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala yeeteeseteese okulokola abo abamutya, ekitiibwa kiryoke kibeerenga mu nsi yaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima obulokozi bwe buba kumpi abo abamutya; Ekitiibwa kiryoke kituulenga mu nsi yaffe.