Psalms 86:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Njigiriza, ayi Mukama, ekkubo lyo, nange nditambulira mu mazima go; kumaakuma omutima gwange, gutye erinnya lyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama, ntambulirenga mu mazima go; ompe omutima omunywevu ogutasagaasagana, ntyenga erinnya lyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onjigirizenga ekkubo lyo, Ayi Mukama; nnaatambuliranga mu mazima go. Ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Njigiriza ekkubo ly'oyagala nkwate, ayi Mukama, nkuwulirenga. Luŋŋamya omutima gwange nkussengamu ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama; naatambuliranga mu mazima go: Ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo.