Psalms 86:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga okwagala kw'onjagalamu kusuffu; omwoyo gwange waguggya emagombe ekkuzimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi; wawonya omwoyo gwange amagombe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okusaasira kwo kungi gye ndi; Era wawonya emmeeme yange mu bunnya obuli wansi ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga onkwatirwa ekisa kingi, wamponya obunnya bw'emagombe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okusaasira kwo kungi gye ndi; Era wawonya emmeeme yange mu bunnya obuli wansi ennyo.